Amateeka Gokujjamu Olubuto Mu’yuganda

“Okujjamu olubuto mu’yuganda kukkirizibwa mumbera ntono nyo, wadde nga kiteeberezebwa nti abakazi 85,000 buli mwanka baffuna obujjajambi orwebiva mukujjamu embuto mubukyamu awamu nomuwendo omulala 65,000 ogwabakazi abafuuna obuzibu kunabana naye nga ttebafuna buyambi mumarwaliro”i Ama’ddagala gokujjamu olubuto gasobola okugulibwa mu marwaliro ge’ddagala nga olina ebbaluwa okuva ewomusawo era nokulongoosebwa mukunjamu olubuto kusoboka mu’yuganda. Ama’ddagala kokujjamu olubuto agakilizibwa mu’yuganda ggagula siringi okuva ku 20,000 paka ku 80,000.

Okujjamu olubuto mu’yuganda kukilizibwa?

Okujjamu olubuto mu’yuganda kukilizibwa kasiita nenkuba nga kukolebwa okutasa obulamu bwomubukazi. Enyingo 22 (2) mussemateeka wa’yuganda awakanya okujjawo obulamu obwomuntu yyena nga ogaseko obwomwana atanazalibwa naye era eragira nti mubisera ebimu olubuto lusobola okujjibwamu mumateeka. Mu’kweyongerayo, mu 2006 eteeka lye’ensi emu mukulungamibwa embwobulamu ne’peleza eyomuwendo ku nsonga yekikolwa ya’bakyala ne’ddembe lyawe mukukajjamu embuto mugeri endala; nga embera ya’baana abaliko obukyamu mulubuto, abakwatidwa, abakakiddwa omukwano okuva mu bazzadde babwe na’bakazi abalina silimu.ii

Wabula, eteeka lya’yuganda ku’kujjamu olubuto likyalinamu ebitategelekeka. Newakubadde nga’linyonyola egeri yokukwatamu ensoga enzo, Okubonerezebwa okuli mu Penal-Code ya 1950 enyonyola okubonereza emisango njja’abantu abajjemu embuto mugeri emenya amateeka. Mu’biino mwemuli okugezako okujjamu olubuto mugeri emenya amateeka, abakazi abagezako okujjamu omwana nga’tanakula, nokutunda eddagala elijjamu olubuto. Biino bi’bonerezebwa mu’ssemateka wa’yuganda ne’myanka ejjitalijimu mukomera. Naye era eteeka liiwa obukuumi eri abantu abalongosa abakazi okujjamu omwana / olubuto mu’buntubulamu nga’bewaala obulabe eri omukazi / maama oyo (Olunyilili 224). Kyadakyi, enyingo 22 (2) mu’ssemateeka wa’yuganda elagila Paliamenti ya’yuganda okubaaga eteeka elina lungamya engeri okujjamu olubutto bwekunakolebwa nga mu’mateeka.iii

Newakubadde ssemateeka ejjilagira, Palliamenti nenaba ku’baaga eteeka lino okutukiriza omulamwa guno, era Penal-code ya’yuganda ebonereza abantu abonna abenyigira mu’kujjamu olubuto, ekyaliwo era jjebakozesa okutegera ani alimusobi.

Nkola kii eyo’kujjamu olubuto eriwo mu’yuganda?

Yuganda ewa abantu enkola eyeddagala ne enkola yokulogosebwa mukujjamu olubuto eri oyo ayagala. Enkola eyeddagala (medical abortion), eggata eddagala lyamilundi ebiri; Mifepristone ne Misoprostol okukozesebwa. Enkola yokulogosebwa nayo elina ekola biri; Manual Vacuum Aspiration (MVA) ne Dilation & Evacuation (D&E).

  • Enkola eyeddagala (MA) ekozesebwa paka ku’sabiiti 12 ezolubuto.
  • Enkola yokulogosebwa esoka (MVA) ekozesebwa paka sabiiti 14 ezolubuto.
  • Enkola yokulogosebwa eyokubili (D&E) ekozesebwa paka sabiiti 24 ezolubuto (Tewelabira nti: ekozesebwa okuva ku’sabiiti 15 paka sabiiti 24 ezolubuto)

Enkola yokulabilila abakazi abagyemu embuto ekirizibwa mu’marwaliro aga’gavumenti nago’obwananyini mu’yuganda.iv

Ani asobola okuwa enkola yo’kujjamu olubuto mu’yuganda?

Mu’yuganda, asobola okuyamba okujjamu olubuto wuno:

  • Omusawo omukugu mubyabakyala
  • Omusawo wabantu boona
  • Kilinico offisa yena
  • Omuzaalisa
  • Omujjanjabi v

Nsobola kugenda wa okufuuna empereza yokujjamu olubuto mu’yuganda?

Empereza eyomulembe atenga ekilizibwa mu’yuganda esangibwa mu’marwaliro ga’govumenti nago agobwananyini agawadikidwa mu mu’minisiture ya’byabulamu na’malala agari mu bitongole bwowanakyewa (NGO) mu’yuganda

Amarwaliro ga’gavumenti mu distrikti nemubwalo g’awa empereza yo’kulabilila abakyala abagyemu embuto mubugedelevu nabo abatagedelede mugeri yemu awataali kusosola.

Muwendo kii ogwetagiisa okufuuna empereza yo’kujjamu olubuto mu’yuganda?

Omuwendo ogwetagiisa okufuuna empereza yo’kujjamu olubuto mu’yuganda gukyukakyuka kusizilila ku’nkola kii omuntu gyeyetaga okukozesa ne kiffo omuntu kyalimu. Enkola ye’ddagala eyinza okubela ku’muwendo gwa siringi 20,000 ne 40,000 ku’nkola ya Misoprotal yeeka, wabula siringi 50,000 ku 80,000 za nkola ya Mifepristone ne Misoprostal byomi. Enkola yokulogosebwa mu’kujjamu olubuto eyinza okubela ku’muwendo gwa siringi 80,000 paka 300,000.

Ddagala kii elyo kujjamu olubuto eliriwo mu’yuganda?

Waliwo ddagala ya’milundi ebiri mu’yuganda:

  • Enkola eyo’kugaata eddagala lya Misoprostol ne Mifepristone welili mu nkora nyinji nga: MA kare, Divabo ne Mariprist.
  • Ekikola kya Misoprostol kyoka mu’manya ga’Miso Kare ,Cytotec, Misoclear ne Kontrac, ne misoprost.

Ekikola kya Misoprostol ye’ddagala ekola mukutangira obulimu gwa’amaazi go’musaayi agayitibwa progesterone agayamba okukuma olubuto lyo’mukazi nga’kitole. Ekyo’kulabirako ye’ddagala lya MA Kare eri’gata ekikora kya misoprostol ne mifepristone. Eddagala lya’Misoprostol lisobola okukozesebwa okuyamba olubuto lyoona okuvamu. Eki’korwa kya Miso Kare kiliina Misoprostol yeka. Okumanya ebisingako kwebyo, kozesa wanno.

Ngenda wa okugula eddagala lyo’kujjamu olubuto mu’yuganda?

Misoprostol ne/ oba ekikorwa kye’ddagala ekilina Misoprostol ne Mifepristone lisobola okugulwa mu’marwaliro gamaddagala oba mu’ffamase mu’yuganda, naye ebaluwa yo’musawo yetaagiwa. Emiwendo zikyuka ku’buli dwaliro yamaddagala oba mu’ffamase.

Wetegeleze nti:

amarwaliro gamaddagala oba ama’ffamase agasinga gatunda eddagala lino awatali baluuwa okuva ewomusawo; wabula tebawa ndagiriro yokukozesa ddagala lino, no’muwndo kii ogwokumira, na’ni alina okulimira. Tukusaba ogende kumutimbagano gwaffe okuli enkola yonna ne’ndagiriro mu’kukozesa eddagala lino: https://howtouseabortionpill.org/howto/

Eddagala lyo’kujjamu olubuto lifanana litwa mu’yuganda?

Wansi tweyogende okuwa obika bwe’ddagala ebikozesebwa okujjamu olubuto mu’yuganda.

Eno yengeli eddagala lya Ma Kare welifanana:

Eno yengeli eddagala lya Mariprist welifanana:

Eno yengeli eddagala lya Divabo welifanana:

Eno yengeli eddagala lya Miso-kare welifanana:

Eno yengeli eddagala lya Cytotec welifanana:

Eno yengeli eddagala lya Miso-clear welifanana:

Eno yengeli eddagala lya misoprost welifanana:

Eno yengeli eddagala lya Kontrac welifanana:

Ani gwesobola okutukirira nga’netaga embeleza yokujjamu olubuto mugeri entuffu no’buyambi obulala mu’yuganda?

  • Marie Stopes Uganda Okwegema okuzaala, Obuyambi bwoyo agyemu olubuto, no’kukedenza obulumi, byamiwendo mitono nyo kumarwaliro ga Marie stopes ggona.
  • Reproductive Health Uganda Okwegema okuzaala, Obuyambi bwoyo agyemu olubuto, no’kukedenza obulumi, byamiwendo mitono nyo kumarwaliro ga Reproductive Health Uganda ggona.
  • Uganda Reproductive Health BureuOkwegema okuzaala, Obuyambi bwoyo agyemu olubuto, no’kukedenza obulumi, byamiwendo mitono nyo kumarwaliro ga URHB ggona. URHB yatongozewa nomulamwa gwokutukiriza empereza ye’kiikola kyabakazi mubavubuka na abaana.
  • Naguru Teenage Centre Empereza eno ewa obuyambi bwonna munkola yo’kujjamu olubuto nepereza endala. Ebimu kubinno muli; okukebela obulwadde byekiikaba (STI) no’bujjajabi, okukebela olubutto, okukebela oluzaaro, ebizibu byokugenda musonga, Obuyambi bwoyo agyemu olubuto, obugumba, obwe’mere nobuyonjjo.
  • St. Augustine Community Health Centre (SACH) Okwegema okuzaala, Obuyambi bwoyo agyemu olubuto, no’kukedenza obulumi, okukebela obulwadde byekiikaba (STI) no’bujjajabi, okukebela olubutto, okukebela oluzaaro, ebizibu byokugenda musonga, no’kukebela kansa wanabaana kumiwendo emisamusamu ku marwaliro ga SACH. Batukilile ku mutimbagano muwuna bwalo ogwa
    Fesibuku: https://web.facebook.com/st.augustinecommunityhealthcentre/?_rdc=1&_rdr
  • Community Health Rights Network (Coherinet) Senga KAKI akola ku songa gya abakazi nempereza yekiikola kyabakyala awatali kusosola, nga awa ngri omukazi jjasobola okweyamba eri abawaala abatukiride mu’myaka mu bantu abasing okukosbwa mumwalo. Batukilile kunamba jjabwe jjino:
    0800 24 72 47(ya MTN) / 0800 34 73 47(ya Airtel). Batukilile ku mutimbagano muwuna bwalo ogwa
    Fesibuku: https://web.facebook.com/coherinet/
  • The Association of Obstetricians and Gynecologists of Uganda (AOGU) Okwongeza mupereza ye’kiikola kya’bakyala, okusomesa, okunonyeleza, emikago no’kukowola gavumenti. Batukilile ku mutimbagano muwuna bwalo ogwa
    Fesibuku: https://web.facebook.com/AOGU1985/

Osimye obuyambi byaffe oba nedda? Kiiki ekirara kyoyagara wano?

Tutukirire wano: info@howtouseabortionpill.org

Ensibuko:

Ekibanja kumutimbagano kino kiyinza okwagala obulondoola abakozesa n'empereeza endala y'abakwasaganya okukola obulungi. Osobola okusoma Enkola n'Obukwakulizo bwaffe n' Emitendera gy'Okukuuma Ebyama . Okusigala ng'okozesa ekibanja kino, oba otuwa okukkiriza kwo okukola kino.